Laba engeri Sheilah bw’akaaba olw’omuggo gwa Musa, Rickman alaze sikiiru
Kyaddaki omuvubuka Derrick Dungu amanyikiddwa ng’omuyimbi Rickman abotodde ebyama.
Rickman nga yeyambisa omukutu gwe ogwa Instagram, avuddeyo okulaga nti ddala kafulu mu laavu.
Rickman asobodde okuteekayo akatambi nga yeesibye tawulo, ng’azina nga bw’ayimba akayimba nti ‘Omuggo gwa Musa Nze agulina era buli gwengukuba akaaba.
Mu kiseera kino Rickman ali mu laavu ne muwala wa Frank Gashumba, Sheilah Gashumba wabula omwezi oguwedde ogwa July, 2023 Sheila yasobola okuvaayo ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter okulangirira nti tayagala bufumbo.
Agamba nti kitaawe Gashumba yamutendeka kukola ssente zokka wabula eby’omukwano tabiriiko nnyo.
Rickman okuvaayo okulaga nti y’omu ku bavubuka abalina omuggo gwa Musa, kabonero akalaga nti Sheilah y’omu ku bawala abakaaba olw’omuggo gwa Rickman.
Sheilah wadde abaddeko mu laavu n’abasajja ab’enjawulo abavubuka n’abakuliridde mu myaka, omuggo gwa Rickman mu kiseera kino agumira yekka, ekyongedde okumuwa essanyu.