Akulira akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda Col. Edith Nakalema alabudde amalwaliiro g’obwannannyini agalinyisizza emiwendo gy’obujjanjabi naddala ku balwadde ba Ssenyiga omukambwe owa #COVID-19.
Ono agamba bagenda kukwatagana ne Uganda Police Force wamu ne Ministry of Health- Uganda okwetegereza ensonga eno.
