By: Shifrah Kayaga: Abavubuka okuva mubibiina byobufizi kuludda oluvuganya ebigundivu bebazizza president museveni olwokudukirira purojekiti zaabwe zabakola nobuyambi bwensimbi.
Bano bebamu kubagabana ku buwumbi obubiri nekitundu museveni zeyawa abavubuka ba kampala.
Kyokka ate bbo abavubuka ba nrm president museveni bamuwanda lulusu ngera olwaleero poliisi erinye egeere mumisinde jaabwe jebabadde bategese nga bawakanya ekya pulezidenti museveni okukwatira nrm bendera nga tavuganyizidwa.